John 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, wabula tugikubeko akalulu, tulabe eneeba y'ani.” Ekiwandiiko kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Ebyambalo byange baabigabana; olugoye lwange ne balukubako akalulu.” Ekyo abaserikale kye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.” Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Baagabana ebyambalo byange, n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.” Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba bokka na bokka nti, “Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo,” ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti, “Bagabana ebyambalo byange, Era bakubira akalulu eky'okwambala kyange.” Awo basserikale ne bakola ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo.” Kino kyabaawo, okutuukiriza ekyawandiikibwa, ekigamba nti: “Baagabana engoye zange, ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.” Abaserikale ekyo kyennyini kye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba bokka na bokka nti Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo: ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti Baagabana ebyambalo byange, Era baakubira akalulu eky'okwambala kyange. Awo basserikale ne bakola ebyo.