John 19:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumpi n'omusaalaba gwa Yezu waali wayimiriddewo nnyina ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kulopa, ne Mariya Magudalena.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye awo awali omusaalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okumpi n'omusaalaba gwa Yesu, waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kuloopaasi, ne Mariya Magudaleena.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye awo awali omusalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene.