John 19:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yalaba nnyina n'omuyigirizwa gwe yali aganzizza ng'ayimiridde awo kumpi, n'agamba nnyina nti: “Mukazi, omwana wo wuuno!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti, “Omukyala, laba, omwana wo!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yalaba nnyina, era n'omuyigirizwa, ye Yesu gwe yayagalanga, ng'ayimiridde awo, n'agamba nnyina nti: “Maama, laba, omwana wo wuuyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo!