John 19:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Nnyoko wuuno!” Okuva mu kaseera ako omuyigirizwa n'amutwala ewuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti, “Laba nnyoko.” Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'atwala nnyina eka ewuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Laba, nnyoko wuuyo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.