John 19:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'ebyo, Yezu ng'ategedde nga byonna biwedde, olw'okutuukiriza Ebiwandiiko, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, olw'okwagala okutuukiriza ebyawandiikibwa, n'agamba nti, “Nnina ennyonta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Yesu ng'amanyi nti kaakano byonna biwedde, olw'okwagala okutuukiriza ekyawandiikibwa, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta.