John 19:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo bwe byaggwa, Yozefu ow'e Arimateya, naye yali muyigirizwa wa Yezu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, n'asaba Pilato amukkirize aggyewo omubiri gwa Yezu. Pilato n'akkiriza. Awo n'ajja n'aggyawo omubiri gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggya omulambo gwa Yesu ku musaalaba: awo Piraato n'akkiriza. Yusufu n'ajja, n'aggyako omulambo gwa Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Yosefu ow'e Arimataya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Pilaato, amukkirize okutwala omulambo gwa Yesu. Pilaato n'akkiriza. Awo Yosefu n'ajja n'agutwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggyako omulambo gwa Yesu: awo Piraato n'akkiriza. N'ajja, n'aggyako omulambo gwe.