John 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Pilato n'afuluma nate, n'abagamba nti: “Wuuno mmubaleetedde, mulyoke mutegeere nga simulabamu nsonga n'emu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti, “Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato era n'afuluma ebweru, n'agamba abantu nti: “Laba, mmubaleetera ebweru, mutegeere nga siraba musango ku ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.