John 19:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baddira omubiri gwa Yezu ne baguzinga mu ssuuka awamu n'ebyakaloosa ng'empisa y'Abayudaaya mu kuziika bwe yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye enjeru wamu n'ebyakawoowo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, nga Abayudaaya bwe bayisa okuziika.