John 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'afuluma bw'atyo ng'alina omuge gw'amaggwa, n'omunagiro ogwa kakobe. Pilato n'abagamba nti: “Omuntu wuuno!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'afuluma, ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti, “Laba omuntu oyo!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'afuluma ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde olugoye olwa kakobe. Pilaato n'abagamba nti: “Mulabe, omuntu wuuno!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'afuluma, ng'ayambadde engule y'amaggwa n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti Laba omuntu oyo!