John 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba ne baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.” Pilato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe mmwennyini mumukomerere kubanga nze simusanzeeko musango.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!” Piraato n’abagamba nti, “Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Komerera, komerera.” Piraato n'abagamba nti, “Mumutwale mmwe mumukomerere, kubanga nze siraba musango ku ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe, mumukomerere ku musaalaba. Nze siraba musango ku ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Komerera, komerera: Piraato n'abagamba nti Mumutwale mmwe mumukomerere: kubanga nze siraba musango ku ye.