John 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, okulabira ku tteeka eryo ateekwa okufa, kubanga yeefudde Mwana wa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo, ateekwa okuttibwa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayudaaya ne bamuddamu nti Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.