John 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'adda ate mu Purayitoriyo n'agamba Yezu nti: “Oli waawa?” Naye Yezu n'atawuuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azzaayo Yesu mu lubiri, n’amubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu n’atamuddamu kigambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti, “Oli wa wa?” Naye Yesu n'atamuddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayingira mu lubiri, n'abuuza Yesu nti: “Oli wa wa?” Kyokka Yesu n'atamuddamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti Oli wa wa? Naye Yesu n'atamuddamu.