John 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Omuntu yenna asooka kugabula vviini nnungi; naye abantu bwe bamala okutamiira n'aleeta esingako obubi. Sso ggwe waleseeyo evviini ennungi okutuusa kati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amugamba nti, “Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi; naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli muntu asooka kugabula mwenge ogw'emizabbibu mulungi, abantu bwe bamala okukkuta, n'aleeta ogutali mulungi. Ggwe waterese omwenge ogw'emizabbibu omulungi okutuusa kaakano!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.