John 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bubonero bwa Yezu ako ke kabereberye; yakakolera mu Kana eky'e Galilaaya, n'ayolesa ekitiibwa kye, n'abayigirizwa be ne bamukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu byewuunyo Yesu bye yakola, kino kye kyasooka. Yakikolera mu Kaana eky'e Galilaaya, n'alaga ekitiibwa kye, abayigirizwa be ne bamukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.