John 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Yezu n'aserengeta e Kafarunawumu wamu ne nnyina, baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku si nnyingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku ntonotono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Yesu ne baganda be n'abayigirizwa be, era ne nnyina, ne baserengeta e Kafarunawumu, ne bamalayo ennaku ntonotono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi.