John 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Kiggwa n'asangamu abatunda ente, endiga, n'enjiibwa, era n'abawaanyisa ensimbi nga batudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu Yeekaalu n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjibwa, n'abawaanyisa effeeza nga bali ku mirimu gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Ssinzizo n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjiibwa, era n'abo abawaanyisa ensimbi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde: