John 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata obuguwa n'abukolamu akaswanyu, bonna n'abagoba mu Kiggwa, era n'endiga n'ente; n'ensimbi z'abawaanyisa n'aziyiwa, n'emmeeza zaabwe n'azivuunika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naddira emigwa n'agikozesa nga embooko, n'abagoba bonna mu Yeekaalu, n'agobamu endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika n'emmeeza zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akwata emiguwa, n'agikolamu obuswanyu, n'abagoba bave mu Ssinzizo, era n'agobamu endiga n'ente. Era n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, ensimbi zaabwe n'aziyiwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe;