John 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano; ennyumba ya Kitange muleke kugifuula katale.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba abaali batunda enjiibwa nti, “Muggyeewo ebintu bino; muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya busubuzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano. Ennyumba ya Kitange muleme kugifuula ya kusuubuliramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi.