John 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abayigirizwa be ne bajjukira nti kyawandiikibwa nti: “Okutakabanira ennyumba yo kwandyamu omwoyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti, “Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti: “Okwagala ennyumba yo, ayi Mukama, kulindya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.