John 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya ne bagamba nti: “Okuzimba Ekiggwa kino kwatwala emyaka ana mu mukaaga. Ggwe n'okisitula mu nnaku essatu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka ana mu mukaaga (46), naawe oligizimbira ennaku ssatu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Essinzizo lino lyazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga. Naye ggwe olirizimbira ennaku ssatu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu?