John 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo waaliwo amatogero ag'amayinja mukaaga nga gateekeddwawo olw'emikolo gy'Abayudaaya egy'okwetukuza; buli ttogero nga liweza ebita bibiri oba bisatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukuza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo amatogero mukaaga ag'amayinja, agaateekebwawo, olw'omukolo gw'Abayudaaya ogw'okwetukuza, buli limu nga livaamu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukiiza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.