John 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye katikkiro w'embaga bwe yalegako ku mazzi agafuuse evviini, gy'ataamanya na gy'evudde, sso abaweereza abaasena amazzi bo nga bamanyi, n'ayita awasizza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse omwenge ogw'emizabbibu, n'atamanya gye guvudde, sso abaweereza abaasena amazzi, bo nga bamanyi. N'ayita awasizza omugole, n'amugamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole,