John 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye n'alowooza nti ye nnannyini nnimiro, n'amugamba nti: “Ssebo, oba wamuggyemu, mbuulira gye wamutadde, nze mmuggyeyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?” Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, “Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti, “Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Mariya n'alowooza nti omuntu oyo, ye mukuumi w'ennimiro, era n'amugamba nti: “Ssebo, oba nga ggwe wamuggyeemu, mbuulira gye wamutadde, ŋŋende mmuggyeyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Omukyala, okaabira ki? onoonya ani? Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.