John 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Mariya.” N'akebuka, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbuni!”, kwe kugamba nti Muyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!” Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Malyamu.” N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni;” amakulu gaakyo Muyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Mariya!” Mariya n'akyukira Yesu, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbooni!” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Malyamu. N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti Labooni; amakulu gaakyo Muyigiriza.