John 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mariya Magudalena n'agenda n'agamba abayigirizwa be nti: “Omukama mmulabye.” N'abagamba nti yali amugambye ebintu ebyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti, “Ndabye Mukama waffe;” era n'abategeeza Mukama by'amugambye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mariya Magudaleena n'agenda, n'abuulira abayigirizwa nti alabye Mukama, era n'abategeeza Mukama by'amugambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino.