John 20:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwali buwungedde, ku olwo oluddirira Sabbaato, abayigirizwa we baali enzigi nga nsibe olw'okutya Abayudaaya, Yezu n'ajja n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo mu kifo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo olusooka mu wiiki, obudde bwe bwali buwungedde, abayigirizwa we baali, enzigi zaali nsibe, olw'okutya Abayudaaya. Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku luli akawugeezi, ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe.