John 20:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yenna ebibi bye bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa; yenna ebibi bye bye munaasibanga, nga bisibiddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebibi byabo bonna bye munaasonyiwanga, binaabasonyiyibwanga; ne by'abo be munaasibiranga, nga bibasibiriddwa ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebibi by'abantu bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa. Eby'abo bye munaagaananga okusonyiwa, abo nga tebibasonyiyiddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa.