John 20:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Omukama tumulabye.” Ye n'abagamba nti: “Wabula nga ndabye mu bibatu bye obubonero bw'enninga, ne nzisa olunwe lwange mu nkovu z'enninga, ne nzisa n'omukono mu lubiriizi lwe, sijja kukkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.” Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti, “Tulabye Mukama waffe.” Naye n'abagamba nti, “Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe.” Kyokka ye n'abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu ez'emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti Tulabye Mukama waffe. Naye n'abagamba nti Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.