John 20:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba Toma nti: “Olunwe lwo luyingize wano, laba n'ebibatu byange; leeta n'omukono gwo oguteeke mu lubiriizi lwange; leka butakkiriza, naye kkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agamba Tomasi nti, “Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba Tomasi nti: “Leeta wano olunwe lwo, era laba ebibatu byange. Era leeta ekibatu kyo, okiteeke mu mbiriizi zange. Leka kuba atakkiriza, naye akkiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba Tomasi nti Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza.