John 20:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era waaliwo n'obubonero obulala bungi Yezu bwe yakola mu maaso g'abayigirizwa be obutawandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa be, obutawandiikiddwa mu kitabo kino;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng'abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa, obutawandiikiddwa mu kitabo kino;