John 20:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga baali tebannamanya Kiwandiiko ekigamba nti yali wa kuzuukira mu bafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti, “kimugwanira okuzuukira mu bafu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Yesu ateekwa okuzuukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuzuukira mu bafu.