John 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simoni Petero n'asaabala mu lyato, n'awalula akatimba n'akakuba ettale. Kaali kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Nandibadde byali nkumu bityo, akatimba tekaayulika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira obutimba ku ttale, nga bujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu (153) naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, obutimba tebwakutuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simooni Peetero n'agenda, n'asaabala, n'awalula akatimba, n'akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo, akatimba tekaakutuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira omugonjo ku ttale, nga gujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu: naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, omugonjo ne gutakutuka.