John 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Mujje mulyeko.” Naye ku bayigirizwa ne kubula ageza okumubuuza nti: “Ggwe ani?” Baali bategedde nga ye Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” Naye ku bayigirizwa tewaali n’omu yategana ku mubuuza nti, “Ggwe ani?” Kubanga bonna baamanya nti ye Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti, “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulye.” Naye ku bayigirizwa, tewali yategana kumubuuza nti: “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Mujje mulye. So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti Ggwe ani, nga bamanyi nga ye Mukama waffe.