John 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okulya, Yezu n'agamba Simoni Petero nti: “Simoni mutabani wa Yowanna, onjagala okusinga bano?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Liisa obuliga bwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?” Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.” Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Liisanga abaana b'endiga bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala okusinga bano bwe banjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga abaana b'endiga zange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange.