John 21:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'amugamba ogwokusatu nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” Simoni Petero n'anakuwala olw'okumubuuza ogwokusatu nti: “Onjagala?”; n'amugamba nti: “Mukama, ggwe omanyi byonna; omanyi nga nkwagala.” Yezu n'amugamba nti: “Liisa endiga zange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba omulundi ogwokusatu nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” N'amugamba nti, “Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti, “Liisanga endiga zange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amugamba omulundi ogwokusatu nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” Peetero n'anakuwala, kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti: “Onjagala?” N'amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi byonna, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga endiga zange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba omulundi ogw'okusatu nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogw'okusatu nti Onjagala? N'amugamba nti Mukama wange, ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n'amugamba nti Liisanga endiga zange.