John 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkugambira ddala mazima nti bwe wali okyali muto, weesibanga n'olaga gye wayagalanga; naye ng'okaddiye, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba n'akutwala gy'otoyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima ddala nkugamba nti bwe wali omuvubuka, weesibanga, n'ogenda gy'oyagala. Naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba, n'akutwala gy'otoyagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.