John 21:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo yakimugamba okutegeeza enfa gy'aligulumizaamu Katonda. Bwe yamala okwogera ebyo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti, “Ngoberera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo Yesu yakyogera, ng'alaga enfa, Peetero gy'alifaamu, okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera ekyo, n'agamba Peetero nti: “Ngoberera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti Ngoberera.