John 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'akebuka, n'alaba omuyigirizwa oli Yezu gwe yali ayagala ng'ajja agoberera, ye oli eyeewunzika ku kifuba kye ku mbaga eri enkulu n'amugamba nti: “Mukama, ani agenda okukuwaayo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti, “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba omuyigirizwa oyo omulala, ng'agoberera. Omuyigirizwa oyo, ye oli Yesu gwe yayagalanga, era eyagalamira okumpi n'ekifuba kya Yesu nga balya, n'amubuuza nti: “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?