John 21:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
We waava olugambo okubuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo teyali wa kufa. Sso Yezu teyamugamba nti teyali wa kufa, wabula nti: “Obanga nze njagala abeerewo okutuusa lwe ndijja, ofaayo ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Sso Yesu teyamugamba nti talifa, wabula nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?