John 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simoni Petero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvubako.” Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda ne basaabala eryato; naye ekiro ekyo tebaakwasa kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Simooni Peetero n'abagamba nti, “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simooni Peetero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasa kantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Simooni Peetero n'abagamba nti ŋŋenda kuvuba. Ne bamugamba nti Naffe tugenda naawe. Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu.