John 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, mujja kukwasa.” Ne bakasuula; olwo nga tebakyayinza na kukawalula olw'obungi bw'ebyennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Musuule obutimba ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kubuwalula olw'ebyennyanja ebingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, era ne batayinza kukannyulula, olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Musuule omugonjo ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa. Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kuguwalula olw'ebyennyanja ebingi.