John 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuyigirizwa oli Yezu gwe yayagalanga n'agamba Petero nti: “Ye Mukama.” Simoni Petero bwe yawulira nti ye Mukama, ne yeebagika ekikanzu kye, kubanga yali bwereere, ne yeesuula mu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti, “ Ye Mukama waffe.” Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga, n'agamba Peetero nti: “Oyo ye Mukama waffe.” Simooni Peetero bwe yawulira nti oyo ye Mukama, ne yeesiba olugoye, (kubanga yali bwereere), ne yeesuula mu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti Ye Mukama waffe. Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.