John 21:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato nga bawalula akatimba akaalimu ebyennyanja, kubanga tebaali wala n'olukalu, mpozzi emikono ng'ebikumi bibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri 200) nga bawalula obutimba obulimu ebyennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato, nga basika akatimba akalimu ebyennyanja. Tebaali wala n'olukalu, naye nga balwesudde mita nga kikumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri,) nga bawalula omugonjo ogulimu ebyennyanja.