John 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baagoba ku lukalu, ne balaba amanda, nga kuliko ebyennyanja, ko n'omugaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baavaamu, ne batuuka ku lukalu, ne balaba omuliro ogw'amanda, nga guteekeddwako ebyennyanja, n'omugaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati.