John 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mazima nkugamba nti kye tumanyi kye twogera, era kye twalaba kye tutegeeza; sso okujulira kwaffe temukukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi. Tukakasa kye twalaba, sso temukkiriza bye tubategeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe.