John 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda yayinga okwagala ensi, kyeyava awaayo Omwana we gwe yazaala omu, buli amukkiriza aleme kuzikirira, naye afune obulamu obutaggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi, kyeyava awaayo Omwana we omu yekka, buli amukkiriza aleme kuzikirira, wabula abe n'obulamu obutaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.