John 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisingisa musango, wabula ensi erokokere mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda teyatuma Mwana we mu nsi agisalire musango, wabula yamutuma, ensi eryoke erokolerwe mu ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.