John 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja ono yajja eri Yezu ekiro, n'amugamba nti: “Rabbi, tumanyi ng'oli muyigiriza okuva ewa Katonda; kubanga tewali ayinza kukola bubonero ggwe bw'okola wabula nga Katonda ali naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja oyo n'ajja eri Yesu ekiro, n'amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula nga Katonda ali naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo n'ajja ekiro eri Yesu, n'amugamba nti: “Rabbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyatumibwa Katonda, kubanga tewali ayinza kukola byewuunyo ggwe by'okola, wabula nga Katonda ali naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye.