John 3:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli akola obubi akyawa ekitangaala, tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme kwanikibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu akola ebikolwa ebibi, akyawa ekitangaala, era tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme kulabibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.