John 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso buli akola ekituufu, ajja eri ekitangaala, ebikolwa bye biryoke birabibwe nga bikolebwa mu Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli akolera ku mazima, ajja mu kitangaala, ekitangaala kirage nti ebikolwa bye bikoleddwa, nga byesigamye ku Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.